Apostle Grace Lubega
Genesis 39:2 (KJV): “And the Lord was with Joseph, and he was a prosperous man; and he was in the house of his master the Egyptian.”
—
There’s a belief some people carry that says, “If you’re successful, wealthy, or doing well in life, then maybe you’ve compromised your values or done something wrong to get wealth.” They look at prosperity with suspicion, as if being poor is the only sign of being truly close to God.
But our theme scripture reveals a different reality. It declares, “The Lord was with Joseph, and he was a prosperous man.”
This shows us something powerful: God was not outside of Joseph’s success; He was in it.
Joseph didn’t cheat, lie, or manipulate anyone to get ahead. He didn’t take shortcuts. He simply walked with God. Because God was with him, Joseph succeeded in everything he did. His success was proof of God’s presence.
You see, not all success is sinful, not all wealth is dirty, and not all prosperity is the result of wicked schemes. We must stop thinking that poverty equals holiness and success equals sin.
God delights in blessing His children. He gives wisdom to succeed, strength to rise, and favor to increase.
If you’re walking with God, don’t be ashamed when things are going well for you. Let your life show what God can do with someone who trusts Him. Joseph prospered because the Lord was with him, and that same God is with you too. Hallelujah!
FURTHER STUDY: Deuteronomy 8:18, Proverbs 10:22
GOLDEN NUGGET: We must stop thinking that poverty equals holiness and success equals sin. God delights in blessing His children. He gives wisdom to succeed, strength to rise, and favor to increase.
PRAYER: Loving Father, thank You for revealing to me Your mind about prosperity. As I walk with You, You bless the work of my hands. I am delivered from any wrong thinking that views prosperity as something evil. My life is a testimony of what You can do in someone who trusts and honors You. In Jesus’ name, Amen.
ENNONO Z’EBYENFUNA BY’OBWAKABAKA: KATONDA KITUNDU KU BUWANGUZI BWO
Omutume Grace Lubega
Olubereberye 39:2 (KJV): Mukama n’aba wamu ne Yusufu, n’aba n’omukisa; n’abeera mu nnyumba ya mukama we Omumisiri.
—
Waliyo enzikiriza abantu abamu gye balina egamba nti, “Bw’oba omuwanguzi, omugagga, oba nga oli bulungi mu bulamu, kitegeeza oba oli awo oyinza okuba nga wekkiriranyizza mu nneeyisa yo oba ng’olina ekintu ekitali kituufu kye wakoze okufuna obugagga.” Batunuulira enkulaakulana n’okwekengera, nga balinga abagamba nti okubeera omwavu ke kabonero kokka akalaga nti omuntu ali ku lusegere ne Katonda.
Naye ekyawandiikibwa kyaffe ekigguddewo kiraga eky’amazima eky’enjawulo. Kirangirila, “Mukama yali ne Yusufu, era yali musajja mugagga.”
Kino kitulaga ekintu eky’amaanyi: Katonda teyali bweru wa buwanguzi bwa Yusufu; Yali munda mu bwo.
Yusufu teyalyazaamaanya, teyalimba oba okuzannyira omuntu yenna ku mutwe okugenda mu maaso. Teyayita mu makubo mampi. Yatambula butambuzi ne Katonda. Era kubanga Katonda yali naye, Yusufu yawangula mu buli kimu kye yakola. Obuwanguzi bwe bwali bukakafu bwa kubeerawo kwa Katonda.
Olaba, si nti buli buwanguzi bwa kibi. Si nti buli bugagga bukyafu. Si nti buli kukulaakulana kuva mu nteekateeka embi. Tulina okulekera awo okulowooza nti obwavu bwenkanankana n’obutukuvu era nti obuwanguzi bwenkankana n’ekibi.
Katonda asanyukira mu kuwa abaana Be omukisa. Awa amagezi ag’okutuuka ku buwanguzi, amaanyi ag’okuyimuka, n’obuganzi obw’okweyongerako.
Bw’oba ng’otambula ne Katonda, toswala olw’okubanga ebintu bigenda bulingi gy’oli. Leka obulamu bwo bulage Katonda ky’Asobola okukola n’omuntu amwesiga. Yusufu yakulaakulana kubanga Mukama yali naye, era Katonda oyo y’omu Ali naawe. Aleruya!
YONGERA OSOME: Ekyamateeka 8:18, Engero 10:22
AKASUUMBI KA ZAABU: Tulina okulekeraawo okulowooza nti obwavu bwenkanankana n’obutukuvu era nti obuwanguzi bwenkankana n’ekibi. Katonda asanyukira mu kuwa abaana Be omukisa. Awa amagezi ag’okutuuka ku buwanguzi, amaanyi ag’okuyimuka, n’obuganzi obw’okweyongerako.
ESSAALA: Kitange Omwagazi, weebale kumbikkulira ndowooza Yo ku kukulaakulana. Nga ntambula Naawe, owa omukisa emirimu gy’emikono gyange. Nunuddwa okuva mu ndowooza enkyamu eraba okukulaakulana ng’ekintu ekibi. Obulamu bwange bujulizi bw’ekyo ky’Osobola okukola mu muntu akwesiga era akuwa ekitiibwa. Mu linnya lya Yesu, Amiina.
Loading…
Loading…
Loading…
Loading…
Loading…
Loading…
Loading…
Loading…
Loading…
Loading …
