Apostle Grace Lubega
Luke 24:15-16 (NKJV): And it came to pass, that, while they communed together and reasoned, Jesus himself drew near, and went with them. But their eyes were holden that they should not know him
—
The Bible gives an account of two disciples of Jesus who, after his death, were walking to a village called Emmaus while discussing the events surrounding Jesus’ death. While they talked, Jesus Himself joined them and walked with them. The Bible reveals that they walked for about seven miles with him but did not recognise him.
What had happened? How is it possible that only after three days, they could no longer recognise the man who had taught them and performed miracles before their eyes?
The answer is that the Lord had ascended to a higher level of glory. This was different from what He had functioned with during His earthly ministry.
This is the power of God’s glory. He can lift you to such a level that even those close to you won’t be able to explain the change. You’ll still be the same in terms of bodily appearance, but with new favor, new wisdom, new power, and a new story.
Elevation by God comes with visible transformation. It may cost you certain friendships, comfort zones, or how others used to relate to you but that’s okay.
Don’t try to conform to old ways just to be familiar with those who knew you at your previous level. Let His glory shine through you. Hallelujah!
FURTHER STUDY: Isaiah 60:1, 2 Corinthians 3:18
GOLDEN NUGGET: God can lift you to such a level that even those close to you won’t be able to explain the change. You’ll still be the same in terms of bodily appearance, but with new favor, new wisdom, new power, and a new story.
PRAYER: My loving Father, I thank You because You have called me to a life of glory. It is not a glory that remains the same but moves from one level to another. Even as you elevate me, I walk in it with humility and faith. When people don’t understand the change, give me strength to stay focused on You, in Jesus’ name, Amen.
AMAANYI G’EKITIIBWA KYA KATONDA
Omutume Grace Lubega
Lukka.24:15-16 (NKJV): Awo ne kituuka nti bwe baali awamu nga bakubaganya ebirowoozo, Yesu mwennyini n’asembera kumpi ne yeeyongerayo na bo. Naye amaaso gaabwe gaali gakwatibwa galeme okumumanya.
—
Bayibuli eraga ebikwata ku bayigirizwa ba Yesu babiri, oluvannyuma lw’okufa kwe, baali batambula okugenda ku kyalo ekiyitibwa Emawo nga banyumya ku bintu ebyaliwo nga Yesu afa. Bwe baali bakyanyumya, Yesu yennyini n’abegattako n’atambula nabo. Bayibuli ebikkula nti baatambula naye mayiro nga musanvu naye tebamutegeera.
Kiki ekyali kibaddewo? Kiyinzika kitya nti oluvannyuma lw’ennaku ssatu zokka, baali tebakyasobola kutegeera musajja eyali abayigiriza era eyakola ebyamagero mu maaso gaabwe?
Eky’okuddamu kiri nti Mukama yali alinnye ku ddaala ery’ekitiibwa erya wagguluko. Kino kyali kya njawulo ku ekyo kye yali akola nakyo mu buweereza bwe obw’oku nsi.
Gano ge maanyi g’ekitiibwa kya Katonda. Asobola okukusitula okutuuka ku ddaala nti n’abo abakuli ku lusegere tebajja kusobola kunnyonnyola nkyukakyuka. Ojja kusigala ofaanana ky’ekimu mu mubiri, naye nga olina okuganja okupya, amagezi amapya, amaanyi amapya, n’olugero olupya.
Okuyimusibwa Katonda kujja n’enkyukakyuka erabika. Kiyinza okukufiiriza emikwano egimu, ebifo eby’obutebenkevu, oba n’engeri abalala gye baali bakolaganamu naawe naye ekyo si kibi.
Togezaako kukwatagana na ngeri nkadde okusobola okubeerawo n’abo abaali bakumanyi ku ddaala lyo eryasooka. Leka ekitiibwa Kye kyakaayakane okuyita mu ggwe. Aleruya!
YONGERA OSOME: Isaaya 60:1, 2 Abakkolinso 3:18
AKASUMBI KA ZAABU: Katonda asobola okukusitula okutuuka ku ddaala nti n’abo abakuli ku lusegere tebajja kusobola kunnyonnyola nkyukakyuka. Ojja kusigala ofaanana ky’ekimu mu mubiri, naye nga olina okuganja okupya, amagezi amapya, amaanyi amapya, n’olugero olupya.
ESSAALA: Kitange Omwagazi, nkwebaza kubanga ompise eri obulamu obw’ekitiibwa. Si kitiibwa ekisigala nga kye kimu wabula ekiva ku ddaala erimu okudda ku ddala. Era nga bw’onyimusa, ntambuliramu n’obwetoowaze n’okukkiriza. Abantu bwe batategeera nkyukakyuka, mpa amaanyi okusigala nga ntunuulidde Ggwe, mu linnya lya Yesu, Amiina.
Loading…
Loading…
Loading…
Loading…
Loading…
Loading…
Loading…
Loading…
Loading…
Loading …